Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’abali wansi w’emyaka 20 emanyiddwa nga Uganda Hippos eteekeddwa mu kibinja B omuli Kenya ne Burundi mu mpaka za Cecafa Under 20 ez’okusunsulamu abaneetaba mu mpaka z’ekikopo kya Africa. Empaka zino zakubeera e Dar es Salaam, Tanzania okuva nga September 15-25. Ttiimu y’eggwanga eya Uganda Hippos kati eyingidde wiiki eyookubiri nga yetegekera empaka zino ku kisaawe kya Fufa Technical center e Njeru.
